Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 155 Mu Lugendo Lwange Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 155 Mu Lugendo Lwange Lyrics

 

1
Mu lugendo lwange lwonna, Yesu ankulembera;
Nyinza ntya (o)kubusabusa, Ye bw’antwala bulijjo?
Byonna ebibeera mu nze Tebiyinza kunnumya,
[Yesu ye Mukuumi wange, Y’angabira (o)bulamu.]x2

2
Mu lugendo lwange lwonna, Yesu ankulembera;
Abalab(e) abalinnumba Ye alibawangula;
Era (a)lintuusa n’essanyu Lingi mu mirembe gye;
[Enjala bweba ng’ennuma Andiisa ku mmere ye.]x2

3
Mu lugendo lwange lwonna, Yesu ankulembera,
Era ne bwe mba nga nkoye, Ampozawoza mangu;
Enyonta ng(a) ennuma ennyo, Ng’enkalamat(a) enzita,
[Oyo lwe Lwazi omuva, Amazzi g’obulamu.]x2

4
Mu lugendo lwange lwonna, Yesu onkulembera;
Ggwe Omulokozi wange Eyanfuul(a) omwana wo;
Ka nkutendereze bwentyo (E)miremb(e) egitaggwawo.
[Nayimba n’essanyu lingi, Ggwe Mununuzi wange.]x2

Exit mobile version