Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 149 Oyagala aaobe Wa Yesu? Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 149 Oyagala aaobe Wa Yesu? Lyrics

 

1
Oyagal(a) obe wa Yesu akulongose? Wetaag(a) otambule mu kubbo lye?
Oyagala yetikkenga obuzibu bwo? Mugany(e) akulu’ngamye!

chorus 1
Amaanyi ge ganakulongoosa; (O)musaayi gwe gunaakutukuza;
Bw’anakujjuza okwagala kwe, Onosanyuka ng’akulu’ngamya!

2
Oyagala akutuuse ku ddembe ddala? Osobole okumugoberera?
Oyagala onywezebwe mu mikono gye? Mugany(e) akulu’ngamye!

3
Oyagala akutuuse mu kiwummulo? Oyagala obeer(e) omuwanguzi
Era oleetenga bangi abakungulwa? Mugany(e) akulu’ngamye!

Exit mobile version