Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 147 Fuga Obulamu Bwange Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 147 Fuga Obulamu Bwange Lyrics

 

1
Fug(a) obulamu bwange, Ggwe Yesu Kabaka,
Ggwe amagezi gange, Mu byonn(a) ebinnema;
Yesu, beeranga mu nze, Mu byonna bye nkola,
Mbeere ng(a) endabirwamu, Ndage (e)kitiibwa kyo.

2
Ka mbeere yekaalu yo, Omutali kibi,
Ekitiibwa kyo kyonna, Nga kyeraga mu nze;
Eby’ensi ka mbiveeko, Okuva kaakano
Mbeere muddu wo ddala, Nkole by’ondagira.

3
Ayi Yesu, nze nzenna, Ka mbeerenga wuwo,
Nkozesa by’oyagala, Sikyali ku bwange;
Bulijjo nettanira (O)kulu’ngamizibwa,
N’okulongoosebwa Ggwe, Mu mutima gwange.

4
Naye kannewombeeke, Mu biseera byonna,
Nga nnind(a) okuteesa kwo, Ggwe nga bw’oyagala;
Fug(a) obulamu bwange, Yesu Ggwe Kabaka,
Ggwe amagezi gange, Mu byonna bye nkola.

Exit mobile version