Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 145 Twala Ensi, Ompe Yesu Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 145 Twala Ensi, Ompe Yesu Lyrics

 

1
Twala ensi ompe Yesu, Eby’ensi tebirwawo;
Naye (o)kwagala kwa Yesu, Kwo kwa mirembe gyonna.

chorus 1
Ekisa kya Yesu kingi! Nga wa kwagala kungi!
Oyo eyatununula, N’atuwa obulamu.

2
Twala ensi, ompe Yesu, Ye ansanyus(a) omwoyo;
Yesu bw’aba nga ankuma, Siriiko ky’entya kyonna.

3
Twala ensi ompe Yesu, Bw’aba nga anjakira;
Mu lugendo lwange lwonna, Nnaafuna omusana.

4
Twala ensi, ompe Yesu, Nze neesiga kufa kwe;
Okutuusa lw’alintwala, Ne mulaba n’amaaso.

Exit mobile version