Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 144 Ompise Yesu Lyrics
1
Ompise, Yesu Mukama wange, N’eddoboozi (e)ry’eki-sa;
Naye njagala okusemberera, Kumpi nnyo naawe, gy’oli!
chorus 1
Onsembe – ze, Kumpi kumpi nnyo,
Nsembeza gy’oli Yesu;
Onsembe – ze, Kumpi, kumpi nnyo, – – –
Awo ku musaalaba.
2
Fuka omwoyo wo ow’ekisa Ku nze nkuweereze-nga;
(O)mutima gwange gubeere ku Ggwe, Nkwagalenga Ggwe wekka.
3
Okwagala kwo kwa buziba nnyo, Ndikutegeera ntuu-se;
Kutumbira waggulu ewala, Gye siyinza kulaba.