Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 136 Kwata Omukono Gwange Lyrics
1
Kwat(a) omukono gwange, ndi munafu,
Siyinza nze ku tambula nzekka;
Naye bw’onyweza siriko kye nnaatya,
Nawangula byonna ebintiisa.
2
(O) mulokozi, kwat(a) omukono gwange,
Onsembeze kumpi n’Omwoyo gwo;
Enzikiz(a) ekutte, onjakire nze,
Nem(e) okuva mu kkubo ly(o) eddungi.
3
Kwat(a) omukono gwange, mu bulwadde,
Nga nzirika nga nnaater(a) okufa;
Bw’obeera nange nnaafun(a) emirembe,
Nnaatambula n’essanyu lingi nnyo.