Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 133 BUli Wantu Wonna Lyrics
1
Buli wantu wonna Yesu gy’antwala,
Buli wantu wonna siriko kye ntya
Yesu bw’aba nga w’ali mba n’essanyu,
Yesu nga w’ali mbeera n’emirembe.
chorus 1
Mukama w’obeera, Siriko kye ntya
Buli wantu wonna nga ndi ne Yesu.
2
Buli wantu wonna Yesu tondeka,
Bonna nga bandese Gwe beera nange;
Bw’ompisa mu kkubo ery’akanyigo,
Jjangu kumpi nnyo nga bwe wasuubiza!
3
Wonna we nsula nga ndi wamu naawe,
Oba nga kifo kya kubonabona;
Ntegeera nga Ggwe olimponya byonna,
Yesu w’obeera ennaku zigwawo.