Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 131 Ayi Yesu Amaaso Gange Lyrics
1
Ayi Yesu amaaso gange, Tegakulaganga;
(E)kizikiza bwe kibikka, Ssiraba maaso go
2
Ssikulaba ssiwulira, Ddoboozi lyo Yesu!
Nga obeera kumpi nange, Mu buli kusaba.
3
Ensi terinaayo kifo, Kya ssanyu nga ekyo;
(E)kifo we ndabaganira, Ne Yesu munnange.
4
Ng(a) ebirooto eby’essanyu, Ebijja mu tulo,
Embala ye ngirowoza, Ne nfun(a) okwesiima.