Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 128 Bwe Tuba Ne Yesu Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 128 Bwe Tuba Ne Yesu Lyrics

 

1
Bwe tuba ne Yesu, Nga tumugondera
Atuw(a) omusana mu kkubo; Tukola by’asiima
Aba wamu naffe, Ne bonna abamugondera.

chorus 1
Mugondere, Tewali mulala,
Wabula Yesu yekka, Gw’oba ogondera.

2
Tewaba nzikiza, Tewabaawo bire,
Omusana gwe gutwakira; Okutya kuggwawo,
Tewaba kwekanga, Aba naff(e) abamugondera.

3
Tukola lwa ssanyu, Naye si lwa nnaku;
Yesu alituwa empeera; Mu kufirwa kwaffe,
Mu kulumwa okungi, Aba naffe bwetumwesiga.

4
Tetulitegeera Kwagaka kwe kwonna,
Okutuusa lwe tulyewaayo; Kubang(a) ekisa kye,
Nessanyu lyagaba, Byabo bokka abamwesiga.

5
Mu kutabagana, Nga tutudde waali,
Oba nga tutambula naye, Ky’agamba, tukole
Gyatuma, tugende, Tetutya twesige, tugonde.

Exit mobile version