Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 115 Njija Ku Musaalaba Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 115 Njija Ku Musaalaba Lyrics

 

1
Njija ku musalaba, Nze omunaku ennyo
Byonn(a) eby’ensi si kintu, Njagala bulokozi.

chorus 1
Nesiga Ggwe, Mukama,
Ggwe Omwana gw’Endiga
Eyafa kulw(a) ababi,
Ndokola ayi Yesu.

2
Nsaba mbeere ne Yesu, Naye siri mulungi;
Ye yekka annongoose, Kubanga yansuubiza.

3
Byonna mbiwaayo gy’oli, Emikwano ne byonna,
Omwoyo n’omubiri, Byonna bibenga bibyo.

4
Yesu bw’obeera mu nze, Mbeera mutuukirivu,
Nnongoosebwa mu byonna, Nkwebaza Ayi Yesu!

Exit mobile version