Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 114 Mukama Netaaga Okuba Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 114 Mukama Netaaga Okuba Lyrics

 

1
Mukama netaag(a) okub(a) omulungi, Era njagala otulenga mu nze
Ommalemu byo-nna ebitasaana Untukuze okusing(a) omuzira.

chorus 1
Onongose mu musayi gwo,
Ebyonono byange byonna biggwewo.

2
Ntunulira nga oyima mu ggulu, Ombere okuleka buli kibi,
Newaddeyo nze-nna mu mikono gyo, Onnaaze mu musaayi gwo ntukule.

3
Mukama Yesu kino kye nsaba, Nga bwe wattibwa ku lw’ebibi byange,
Omusaayi gwo- gunnazek(o) ebibi, Ntukule okusinga omuzira.

4
Mukama olaba bwe nkusuubira, Jjangu ompe omutima omuggya,
Ggwe atagamba- bajja nti “Muveewo,” Onnaaze mu musaayi gwo ntukule.

Exit mobile version