Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 111 Omusawo ali Kumpi Lyrics
1
Omusawo ali kumpi, – – Mukama ow’ekisa;
Azzaam(u) amaany(i) abakooye,- Wulir(a) eddoboozi lye.
chorus 1
A-sinzibwa muggulu, N’a-sinzibwa ne ku nsi;
Kirungi okuyimba, Ku linnya lye Yesu.
2
Ayi Omwana gw’endiga, – – Nzikiriza (o)kufa kwo;
Nsanyukira erinnya lyo, – – Ery’omuwendo mungi.
3
Erinnya lye lindokola, – – Erinnya lye lyokka,
Nsanyuka okuwulira, – – Yesu nga asinzibwa.
4
Bwalikomawo n’engule, – – Engule ey’obulamu;
Tulituula wamu naye, – – Twekulise ens(i) eno.