Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 110 Waliwo Oluggi Oluggule Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 110 Waliwo Oluggi Oluggule Lyrics

 

1
Waliwo (o)luggi (o)luggule, Omwo mwe ndabira nze,
Okwagala kwa Mukama, Okwamunfiiriza nze. – – –

chorus 1
Nga kwagala kunene nnyo,
Olwo lwaggulwa ku lwange?
Lwange, Lwange? – – –
Lwagulwa ku lwange?

2
Oluggi olwo lwa bonna, (A)banoonya (o)bulokozi;
Abagagg(a) era n’abaavu, Lwa buli muntu yenna. – – –

3
Tulwanyise omulabe, Oluggi lukyagguddwa,
Kkiriza ofune (e)ngule, Wesig(e) okwagala kwe. – – –

4
Fenna bwe tulisomoka, Nga tuwangudde ensi;
Ne tutikkirw(a) engule, Tunamuyimbiranga. – – –

Exit mobile version