Site icon Treasure Hymns – Luganda

Hymn 107 Yesu Atuyita Ffenna Lyrics

Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 107 Yesu Atuyita Ffenna Lyrics

 

1
Yesu atuyita fenna, Tukole mu nnimiro;
Kubanga zonna zengedde, Anakola aluwa?
Ayita ggwe era nange, Empeera ye nnene nnyo;
Ani addamu n’essanyu, Nti “Nze nzuno, ontume.”

2
Ne bw’otogenda wala nnyo kunoonya ababula,
Ojja kubasanga bangi, kumpi ku miriraano,
Oba toli mwogezi nnyo, Okwenkana Paulo,
Yogera ku Yesu kyokka, Nga yafa kulwa bonna.

3
Obanga toli mukuumi, Ku bbugwe wa Sayuni
Nga obalaga ku Yesu “Ekkubo n’obulamu.”
Gwe nyiikira mu kusaba, Ye anakola byonna,
Ojja kubanga Aloni, (O) kuwanirira Musa.

4
Abantu bazikirira. Mukama akuyita,
Togezako kugamba nti “Nze siriiko kye nnyinza.”
Kola gwonna gw’akuwadde, Era kola n’essanyu;
Bwakuyita ddamu bw’oti Nti “Nze nzuuno: Ontume.

Exit mobile version