Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 104 Yesu Wange Ya’ngamba Lyrics
1
Yesu wange ya’ngamba nti, “Jjangu owummule;
Wummula ggwe akooy(e) ennyo Mu kifuba kyange”.
Ayi Yesu,- najja gy’oli, Nali o-munaku:
Nawummuliranga mu Ggwe,
Ompadde (e)ssanyu lyo.
2
Yesu wange ya’ngamba nti, “Kye nkuwa kya buwa;
Nywa (a)mazzi ag’obulamu, Owon(e) enyonta yo”.
Ne nsembera- (a)wali Yesu, Ne nnywa (a)ma-zzi ago;
Ne nfun(a) amaanyi mu mwoyo,
Kakano ndi wuwe.
3
Yesu wange ya’ngamba nti, “Ensi ya nzikiza,
Tunulira Nze ofune (O)musana gw’omwoyo”.
Natunula- eri Yesu, Ye nanja-kira nze,
Kantambulirenga mu Ye,
Ekkubo ly’essanyu.