Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 103 Yesu Atuyita N’ekisa Ekingi Lyrics
1
Yesu ayita n’ekisa ekingi, Ggwe nange atuyita;
Ayimiridde nga alindirira, Alinze ggw(e) era nange.
chorus 1
Mujje, eka!- Mwenna abakooy(e) ennyo!-
Yes(u) abayita n’ekisa ekingi,
Komawo mangu – – – e – – – ka.
2
Yesu yegayirira tunagaana? Yegayirira fenna,
Lwaki tugaana ekisa kye kino, Ky’atulaze ffe fenna?
3
Ekiseera ky’ekisa kye kiyita, Olinze kuggalirwa?
Esaawa eyokufa esembera, Esemberedde ffenna.
4
Lowooza okusuubiza kwe kwonna, Kw’asuubiza ggwe nange:
Ffe twayonoona naye asonyiye, Atusonyiye fenna.