Enyimba za Kristo Luganda Sda Hymns Hymn 100 Yimirira ne Yesu Lyrics
1
Yimirira ne Yesu, Ggwe omulwanyi we;
Yimusa (e)bendera ye, So togissa wansi!
Mu ntalo zaffe zonna, Atukulembere,-
Awangul(e) omulabe, Ye abe Kabaka.
2
Yimirira ne Yesu, (E)ng’oma erawa;
Olutalo lunene, Golokoka mangu!
Abantu be mulwane (A)balabe bangi nnyo,-
Kale muddem(u) amaanyi, Tujja kuwangula.
3
Yimirira ne Yesu, Weesig(e) amaanyi ge,
Ggwe oli munafu nnyo, Weesige Ye yekka!
Mu maanyi g’Enjiri Ye, Wamu n’okusaba,-
Mu buli kabi konna, Lwaniranga mu Ye.
4
Yimirira ne Yesu, (O)lutalo terulwe,
Olwa leero kulwana, Enkya buwanguzi!
Awangul(a) aliweebwa, (E)ngule (e)y’obulamu,-
Alifuga ne Yesu, Emirembe gyonna.