Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 97: TUSINZA NNYO ERINNYA LYO Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 97: TUSINZA NNYO ERINNYA LYO Lyrics

 

OLUYIMBA 97: TUSINZA NNYO ERINNYA LYO
1
TUSINZA nnyo erinnya lyo
Ayi Yesu Mukama,
Awamu n’abantu bonna;
Kababa waffe Yesu,afuga byonna.

2
Mumwebaze, mmwe-abattibwa
Okubalanga ye
Musinze-eyabafiirira:
Kababa waffe Yesu,afuga byonna.

3
Nammwe Bayisirayiri be
Abaanunulibwa,
Musinze-Omwana wa Dawudi
Kababa waffe Yesu,afuga byonna.

4
Abantu abaasonyiyibwa
Olw’ekisa kye ye,
Mufukaamirire Yesu:
Kababa waffe Yesu,afuga byonna.

5
Amawanga gonna-agensi
Muwulire Yesu:
Erinnya lye lisinzibwe.
Kababa waffe Yesu,afuga byonna.

6
Twagala okutuukayo
Mu maaso ga Yesu,
Okumweyanza bulijjo:
Kababa waffe Yesu,afuga byonna.

Exit mobile version