Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 50: LABA OMWANA MU KIRAALO-OMU Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 50: LABA OMWANA MU KIRAALO-OMU Lyrics

 

OLUYIMBA 50: LABA OMWANA MU KIRAALO-OMU
1
LABA Omwana mu kiraalo-omu;
Ye Kabaka wa bakabaka;
Talina kifo-okuzaalirwamu
Naye yeetikka-ekibi byaffe.

2
Omwana oyo Omutukuvu
Omulokozi yeetoowaza
Okubeera mu nsi nga muwombeefu;
Tulimulaba mu kitiibwa.

3
Banabbi bangi abaamulanga
Ne bamalayika baayimba,
Bo ne bagamba nti azaaliddwa,
Asaanidde nnyo ekitiibwa

Exit mobile version