Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 406: WAALIWO EDDA OMUWALA Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 406: WAALIWO EDDA OMUWALA Lyrics

 

OLUYIMBA 406: WAALIWO EDDA OMUWALA
1
WAALIWO edda omuwala
Mu Beserekemu Yuda
Empisa ze zaali nnungi
Era yali muwombeefu.
Nze ndi muzaana wa Mukama
Kibe ku nze nga bw’ogambye

2
Malayika n’ajja gy’ali
Mirembe gwe-aweereddwa-Omukisa

Olibeera olubuto

Olizaala-Omulokozi.
Nze ndi muzaana wa Mukama
Kibe ku nze nga bw’ogambye

3
Ekyo kirimbaako kitya?

Kuba simanyi musajja?
Malayika n’amuddamu:
Omwoyo alikujjira
Nze ndi muzaana wa Mukama
Kibe ku nze nga bw’ogambye

4
Teyagaana,teyalimba
Yaddamu kimu ekituufu
Bw’ati ye n’obuwombeefu.
Kibe Kityo nga bw’ogambye.
Nze ndi muzaana wa Mukama
Kibe ku nze nga bw’ogambye

5
Mukama akyama amalala
Newankubadd’empisa embi,
Abawombeefu mu mwoyo,
Katonda ye abakkiriza.
Nze ndi muzaana wa Mukama
Kibe ku nze nga bw’ogambye

Exit mobile version