Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 37: OMWAMI W’EKITIIBWA KYONNA BWE YAJJA KU NSI Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 37: OMWAMI W’EKITIIBWA KYONNA BWE YAJJA KU NSI Lyrics

 

OLUYIMBA 37: OMWAMI W’EKITIIBWA KYONNA BWE YAJJA KU NSI
1
OMWAMI w’ekitiibwa kyonna bwe yajja ku nsi,
Abakopi n’abagenyi baamweyuna mangu,
Bwe baalaba nga basinza ne bamalayika

Baayimba:Ssanyu,ssanyu, ssanyu nnyo,
Tumutende,Omwami waff(e) era Omwami wammwe.

2
Kale tumutende tumusinze wa kitiibwa,
Azze leero tumulabye Mwami waffe ddala,
Amaloboozi gaffe n"aga bamalayika

Baayimba:Ssanyu,ssanyu, ssanyu nnyo,
Tumutende,Omwami waff(e) era Omwami wammwe.

3
Abatonde bonna wonna baana ba Katonda,
Mutegeere-obulokozi bwaffe bwe tutenda,
Mutunuulire mwenna, tumusembeze fenna,

Baayimba:Ssanyu,ssanyu, ssanyu nnyo,
Tumutende,Omwami waff(e) era Omwami wammwe.

Exit mobile version