Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 351: KATONDA WANJAGALA Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 351: KATONDA WANJAGALA Lyrics

 

OLUYIMBA 351: KATONDA WANJAGALA
1
KATONDA wanjagala
N’ompa-Omwana wo Yesu
Abe mukwano gwange
Annyambe mu bizibu.

2
Yesu tolekangayo
-Okuba mukwano gwange;
Bulijjo beera nange
Era n’okunnumggamya.

3
Naakwagala ntya Yesu?
Nze naakutonera ki?
Siraba kye mba nkuwa
Anti byonna bintu byo.

4
Naye kye nnina kimu
Nkuwadde-omwoyo gwange;
Naakugobereranga,
Ondagirire-ekkubo.

Exit mobile version