Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 31: YESU OMULINDWA, JJANGU! Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 31: YESU OMULINDWA, JJANGU! Lyrics

 

OLUYIMBA 31: YESU OMULINDWA, JJANGU!
1
YESU omulindwa, jjangu!
Ffe tukulindirira;
Ebibi byonna-otuggyeko
Otuwummuze mangu.

2
Ggwe ssuubi ly’abantu bonna,
Ggwe ssanyu ly’aboonoonyi.
Amawanga gonna gonna,
Gakwetaaga Katonda.

3
Baakutuuma-erinnya Yesu
Eyanunula-abantu,
Wazaalibwa nga Kabaka
Era ng’omwana omuto.

4
Olw’omwoyo wa Katonda
Otufugire ddala;
Beera mu ffe-otuwe-amaanyi
Otutuuse mu ggulu.

Exit mobile version