Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 252: MMWE MWENNA ABANOONYA-OKUTUUKA MU GGULU Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 252: MMWE MWENNA ABANOONYA-OKUTUUKA MU GGULU Lyrics

 

OLUYIMBA 252: MMWE MWENNA ABANOONYA-OKUTUUKA MU GGULU
1
MMWE mwenna abanoonya-okutuuka mu ggulu,
Mulabe ku Mukama,mubeere n’essanyu;
Tewali kkubo ddala,bwe mutayingira
Mu luggi lw’omu ggulu olwalagirirwa.

2
Oluggi olwo ye Yesu-eyatugamba nti:
Buli akkiriza nze asonyiyibwa-ebibi;
Mmwe mwenna abakooye,kale mujje gye ndi
Nammwe aboonoonyi be najja-okulokola.

3
Leero terunnaggalwa oluggi lw’eggulu;
Lukyali-awo luggule okuyingiramu.
Kale tolwa,yanguwa okuyita omwo;
Katonda-akugamba ntiKale jjangu leero.

Exit mobile version