Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 250: TEWALI MU NSI MUNO MULONGOOFU Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 250: TEWALI MU NSI MUNO MULONGOOFU Lyrics

 

OLUYIMBA 250: TEWALI MU NSI MUNO MULONGOOFU
1
TEWALI mu nsi muno mulongoofu
So nga tewaliba mu ggulu,
Wabula abantu be yalongoosa
N’omusaayi-ogwa Yesu yekka.

Munaabe mu musaa(yi),ogunaaza mmwe buli kibi;
Mmwe temulitukul(a) awatali ye;
Munaabe mu musaa(yi) gwa Yesu.

2
Omusaayi-gwe Yesu gubanaaze nnyo
Abagwagwa ab’omu mwoyo:
Kale temulwa,naye muyanguwe
Okunaaza emyoyo gyammwe.

Munaabe mu musaa(yi),ogunaaza mmwe buli kibi;
Mmwe temulitukul(a) awatali ye;
Munaabe mu musaa(yi) gwa Yesu.

3
Bw’alikomawo nate-Omulokozi
N’amaanyi n’ekitiibwa kingi,
Abatannanaaba baliyingira
Mu mbaga y’obugole batya?

Munaabe mu musaa(yi),ogunaaza mmwe buli kibi;
Mmwe temulitukul(a) awatali ye;
Munaabe mu musaa(yi) gwa Yesu.

4
Balitya-okulabika mu maaso ge
Okutya kuliba kwereere:
Naye leero muyinza-okulokoka
Mu busungu bwe obulijja.

Munaabe mu musaa(yi),ogunaaza mmwe buli kibi;
Mmwe temulitukul(a) awatali ye;
Munaabe mu musaa(yi) gwa Yesu.

Exit mobile version