Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 210: BULI MUNTU YENNA AWULIRE Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 210: BULI MUNTU YENNA AWULIRE Lyrics

 

OLUYIMBA 210: BULI MUNTU YENNA AWULIRE
1
BULI muntu yenna awulire
Ebigambo by’Omulokozi w’ensi,
Bunya wonna wonna nti Akkiriza
Alirokoka mu ye.

Mujje nno gye ndi abakooy(e) ennyo
Mulyoke muwummulenga n’essanyu.
Buli muntu ajja naamwaniriza,
Siimugobere bweru.

2
Buli muntu yenna asembere
Oluggi lw’omu ggulu lugguddwaawo,
Yesu ge mazima,lye kkubo lyaffe;
Ekibalwisa kiki?

Mujje nno gye ndi abakooy(e) ennyo
Mulyoke muwummulenga n’essanyu.
Buli muntu ajja naamwaniriza,
Siimugobere bweru.

3
Buli muntu yenna amwagala
Kye kigambo kya Katonda-atalimba;
Kale bannange,tubunye-ettendo lye,
Atugabidde buwa.

Mujje nno gye ndi abakooy(e) ennyo
Mulyoke muwummulenga n’essanyu.
Buli muntu ajja naamwaniriza,
Siimugobere bweru.

Exit mobile version