Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 169: NEEGOMBA NNYO-OKUWULIRA Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 169: NEEGOMBA NNYO-OKUWULIRA Lyrics

 

OLUYIMBA 169: NEEGOMBA NNYO-OKUWULIRA
1
NEEGOMBA nnyo-okuwulira
Ku linnya lya Yesu;
Tewali na limu ku nsi
Eririfaanana.

2
Lintegeeza-Omulokozi
Bwe yafa ku lwange,
Era-okufa kwe-okw’ensonyi
Kwanfuula-ow’eddembe.

3
Erinnya-eryo linsanyusa
Mu biro-eby’ennaku;
Era bwe mba nga nkooye nnyo
Linzizaamu-amaanyi.

4
Ka nnyimbenga nnyo n’essanyu:
Awamu n’essubi;
Kubanga Yesu yamgamba,
Nti nkomawo mangu.

Exit mobile version