Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 168: YESU ALIFUGA WONNA Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 168: YESU ALIFUGA WONNA Lyrics

 

OLUYIMBA 168: YESU ALIFUGA WONNA
1
YESU alifuga wonna,
Wonna-omusana we gwaka;
-Obwakabaka bwe bulibuna
-Okutuusa ennaku zonna.

2
Abantu b’ennimi zonna
Batendenga-okwagala kwe;
Abaana banaabuuliranga,
Obulungi bw’erinnya lye.

3
Omukisa gwebwe guli
-Abasibe bafuna-eddembe;
-Abakooye banaawummulanga,
Abeetaaga ne bakkuta.

4
Buli muntu-ayimirire
Atende nnyo Kabaka we,
Bamalayika ne bayimba,
Ensi n’eddamu Amiina.

Exit mobile version