Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 128: GGWE-EMMERE Y’OBUGENYI Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 128: GGWE-EMMERE Y’OBUGENYI Lyrics

 

OLUYIMBA 128: GGWE-EMMERE Y’OBUGENYI
1
GGWE-emmere y’obugenyi,
Ggwe maanu y’abalonde,
Eriisa-abeesigwa:
Abatambuze-abakoowu
Tulumibwa enjala
Olw’obulungi bwo.

2
Ggwe-oluzzi olutaggwaawo
Era-olukulukuta
N’essanyu n’ekisa,
-Oluwummuza-ab’ennyonta
-Okutuusa lwe bawona
N’amazzi g’obulamu.

3
Tulabira kaakano
Kyokka mu ndabirwamu;
Ebitalabika:
Naye mu biro biri
Tunaatunuuliranga
Amaaso ge ddala

Exit mobile version