Site icon Treasure Hymns – Luganda

OLUYIMBA 113: MU MIKONOGYO YESU Lyrics

Luganda Anglican Hymn OLUYIMBA 113: MU MIKONOGYO YESU Lyrics

 

OLUYIMBA 113: MU MIKONOGYO YESU
1
MU mikono gyo, Yesu,
Tuleeta-omwana-ono;
Ku Bbatirizo lino,
Tukusaba-omukuume.

2
Tumanyi-okwagala kwo
Eri-abaana bonna;
Kubanga wabanenya
Abaali babagoba.

3
Naffe leero tusaba
Bwe tuleeta ono
Omutuule-omwana wo
-Emirembe n’emirembe.

4
Omulabe wa maanyi,
Naye wamusinga
Otukuume mu kkubo,
Otutuuse mu ggulu.

Exit mobile version